Mark 5:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'abonyaabonyezeddwa nnyo abasawo bangi; yali awaddeyo ebibye byonna, naye nga talungiwako, wabula nga yeeyongera kubeera bubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali yeewuubye mu basawo bangi abaamujanjabanga okumala emyaka egyo gyonna; ne byonna bye yalina nga bimuweddeko, obulwadde ne butawona wabula okweyongera obweyongezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali yeewubye ennyo mu basawo bangi, n'awangayo bye yali nabyo byonna, so n'atabaako kimugasa, naye ne yeeyongeranga bweyongezi okulwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali awaddeyo ebintu bye byonna mu basawo bangi abaamujjanjaba, kyokka n'atawona, wabula ng'endwadde ye yeeyongera bweyongezi okuba embi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyatengejja ennyo eri abasawo abangi, n'awangayo bye yali nabyo byonna, so n'atabaako kimugasa, naye ne yeeyongeranga bweyongezi okulwala,