Mark 5:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago omusaayi ogwajjanga ne gukalira, n'awulira muli mu mubiri gwe ng'awonye endwadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwakikomako, amangwago ekikulukuto ky’omusaayi ne kikalira n’ategeerera ddala ng’awonye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago ekikulukuto ky'omusaayi n'ekikalira, n'awulira mu mubiri gwe ng'awonyezebbwa obulwadde bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yakikwatako, amangwago ekikulukuto ky'omusaayi ne kikalira. N'awulira mu mubiri gwe ng'awonye obulwadde bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago ensulo ey'omusaayi n'ekalira, n'ategeera mu mubiri gwe ng'awonyezebbwa ekibonoobono kye.