Mark 5:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali asula mu biggya, nga tewali akyayinza kumusiba, newandibadde n'enjegere;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu ono yasulanga mu malaalo era yali alaluse nnyo nga tewakyali na muntu asobola kumusiba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja ono yasulanga mu malaalo, nga tewakyali muntu ayinza kumusiba, newakubadde mu lujegere,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu oyo yasulanga mu mpuku ezo. Waali tewakyali muntu asobola kumukuuma nga musibe na kintu kyonna, wadde olujegere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyasulanga mu ntaana; nga tewakyali muntu ayinza kumusiba, newakubadde mu lujegeregere,