Mark 5:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Yezu n'awulira nga waliwo amaanyi agamuvuddemu, n'akyukira ekibiina, n'abagamba nti: “Ani akomye ku byambalo byange?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago Yesu n’awulira ng’amaanyi agamuvuddemu, n’akyukira ekibiina ky’abantu n’abuuza nti, “Ani akutte ku kyambalo kyange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago Yesu bwe yategeera munda mu ye amaanyi agamuvuddemu, n'akyuka mu kibiina n'abuuza nti, “Ani akomye ku byambalo byange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kaseera ako kennyini, Yesu n'awulira ng'obuyinza bwe obuwonya bukoze. N'akyukira ekibiina ky'abantu, n'abuuza nti: “Ani ankutte ku kyambalo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago Yesu bwe yategeera munda mu ye amaanyi agamuvuddemu, n'akyuka mu kibiina n'agamba nti Ani akomye ku byambalo byange?