Mark 5:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Naawe olaba ekibiina kikusindiikiriza, n'ogamba nti: ‘Ani ankomyeko?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Ku bantu abangi bati abakunyigiriza oyinza otya okubuuza nti, ‘Ani ankutteko?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Olaba ekibiina bwe bakunyigiriza, oyinza otya okubuuza nti, ‘Ani ankomyeko?’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa be ne bamuddamu nti: “Naawe olaba abantu bakunyigiriza, ate n'obuuza nti ani ankutteko?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayigirizwa be ne bamugamba nti Olaba ekibiina bwe bakunyigiriza, n'ogamba nti Ani ankomyeko?