Mark 5:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi bwe yategeera ekikoleddwa mu ye, n'ajja ng'atidde, ng'akankana, n'avunnama ku bigere bye n'amutegeeza amazima gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukazi bwe yategeera ekituuseewo n’ajja eri Yesu ng’atidde nnyo era ng’akankana, n’agwa awo mu maaso ga Yesu n’amutegeeza amazima gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omukazi bwe yamanya ekimutuseeko, n'ajja eri Yesu ng'atidde nnyo era ng'akankana, n'agwa mu maaso ge, n'amubuulira amazima gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye omukazi eyamanya ekimukoleddwa, n'ajja ng'atidde, era nga bw'akankana, n'afukamira mu maaso ga Yesu, n'amutegeeza amazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omukazi ng'atya ng'akankana, ng'amanyi ky'abadde, n'ajja n'afukamira mu maaso ge, n'amubuulira eby'amazima byonna.