Mark 5:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'amugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe, owonere ddala endwadde yo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’agamba omukazi nti, “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe obulwadde bwo buwonedde ddala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amugamba nti, “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe, owonere ddala obulwadde bwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amugamba nti: “Omuwala, owonye olw'okukkiriza kwo. Genda mirembe, obulwadde bwo buwonere ddala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; weegendere n'emirembe, owonere ddala ekibonoobono kyo.