Mark 5:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali akyayogera, ne wabaawo abajja okuva ew'omukulu wa sinaagooga, ne bagamba nti: “Muwala wo afudde; omuyigiriza okyamuteganyiza ki ate?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye yali akyayogera n’omukazi ababaka ne batuuka nga bava mu maka g’omukulu w’ekuŋŋaaniro, ne babikira Yayiro nti, “Omuwala afudde, noolwekyo tekikyetaagisa kuteganya Muyigiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yali akyayogera, abaava mu maka ga Yayiro ne bajja, ne bagamba Yayiro nti, “Omuwala wo afudde. Oteganyiza ki nate Omuyigiriza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu yali akyayogera, ababaka abaava mu maka ga Yayiro, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, ne bajja. Ne bategeeza omukulu oyo nti: “Muwala wo afudde, ate Omuyigiriza okyamuteganyiza ki?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali akyayogera, abaava ew'omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bajja, nga bagamba nti Omuwala wo afudde; oteganyiza ki nate Omuyigiriza?