Mark 5:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yezu bwe yawulira ekigambo kye boogedde, n'agamba omukulu wa sinaagooga nti: “Totya, kkiriza bukkiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’awulira ebigambo ebyayogerwa wabula n’agamba omukulu w’ekkuŋŋaaniro nti, “Totya, ggwe kkiriza bukkiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'atassaako mwoyo ku bigambo ebyogeddwa wabula n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti, “Totya, kkiriza bukkiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yawulira bano bye boogera, n'agamba Yayiro nti: “Totya, kkiriza bukkiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu n'atassaako mwoyo ku kigambo ekyogeddwa, n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti Totya, kkiriza bukkiriza.