Mark 5:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ataganya muntu mulala yenna kumugoberera, okuggyako Petero ne Yakobo ne Yowanna muganda wa Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’aziyiza ekibiina kyonna okugenda naye, okuggyako Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda wa Yakobo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'agaana abalala bonna okugenda naye okuggyako Peetero ne Yakobo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'agaana abantu abalala okugenda naye, okuggyako Peetero n'abooluganda Yakobo ne Yowanne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ataganya muntu kugenda naye wabula Peetero ne Yakobo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo.