Mark 5:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
emirundi mingi yateekebwako mu masamba ne mu njegere, enjegere n'azikutulakutula, n'amasamba n'agamenyaamenya; tewaali ayinza kumusobola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emirundi mingi baagezangako okumussa ku mpingu n’okusiba amagulu ge n’enjegere naye byonna ng’abikutulakutula. Ne wataba na muntu w’amaanyi ayinza kumusiba kumunyweza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga emirundi mingi baagezangako okumussa mu masamba, n'okumusiba mu njegere, enjegere n'azikutula, n'amasamba n'agamenyaamenya. Ne wataba muntu wa maanyi asobola okumunyweza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emirundi mingi yasibibwanga n'enjegere emikono n'amagulu, kyokka zonna n'azikutulakutula. Era tewaali muntu wa maanyi n'omu ayinza kumusobola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga emirundi mingi yateekebwako mu masamba, ne mu njegere, enjegere n'azikutula, n'amasamba n'agamenyaamenya: ne wataba muntu wa maanyi okumusobola.