Mark 5:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagobera bonna ebweru, awo n'atwala kitaawe w'omuwala ne nnyina na bali abaali naye, n'ayingira omuwala mwe yali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo. Naye n’abagamba bonna bafulume mu nju. N’atwala abazadde b’omwana n’abayigirizwa be abasatu n’ayingira nabo mu kisenge omwana mwe yali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo. Naye n'abagamba bonna bafulume mu nju. N'atwala kitaawe w'omuwala ne nnyina n'abayigirizwa abaali naye, n'ayingira nabo mu kisenge omuwala mwe yali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamusekerera. Bwe yamala okugobawo abalala bonna, n'atwala abazadde b'omwana, n'abayigirizwa be abasatu, n'ayingira nabo mu kisenge omwana mw'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamusekerera nnyo. Naye bwe yabafulumya bonna, n'atwala kitaawe w'omuwala ne nnyina n'abo abaali naye, n'ayingira omuwala mw'ali.