Mark 5:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abakuutira nnyo wabulewo omuntu akimanyaako; n'abagamba okumuwa ekyokulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’abakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo n’abalagira bawe omwana ekyokulya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo n'alagira okuwa omuwala eky'okulya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abakuutira nnyo, kino obutakibuulirako balala. Era n'abalagira okuwa omwana emmere alye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abakuutira nnyo buli muntu yenna aleme okukimaaya ekyo: n'alagira okumuwa eky'okulya.