Mark 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwalengera Yezu eri, n'addukanako n'amusinza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yalengera Yesu ng’akyali walako ku nnyanja n’adduka n’agenda eryato we lyagoba, n’asinza Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yalengera Yesu ng'akyali wala ko n'adduka n'atuuka awali Yesu n'amusinza; n'akaaba n'eddoboozi ddene
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe yalengera Yesu, n'ajja gy'ali ng'adduka, n'amussaamu ekitiibwa ng'amufukaamirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yalengera Yesu ng'akyali wala, n'addukana n'amusinza; n'akaaba n'eddoboozi ddene