Mark 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'abagamba nti: “We muyingiranga mu nnyumba, mubeeranga omwo okutuusa lwe muvaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Era buli nnyumba gye munaayingirangamu musulanga omwo okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Buli nju yonna mwe muyingiranga mubeeranga omwo okutuusa lwe mulivaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'abagamba nti: “Buli kibuga kye muba mutuuseemu, musule mu maka g'abantu ababaanirizza, okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Buli nju yonna mwe muyingiranga mubeeranga omwo okutuusa lwe mulivaayo.