Mark 6:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekifo kyonna we banaagaananga okubaaniriza, ne bagaana okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo, mukunkumulanga enfuufu eri ku bigere byammwe ng'obujulizi obubalumiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe mutuukanga mu kifo ne batabaaniriza yadde okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo mukunkumuliranga mu kifo omwo enfuufu ey’omu bigere byammwe, okuba akabonero gye bali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na buli kifo kyonna ekitalibakkiriza, ekitalibawulira, bwe muvangayo, mukunkumulanga enfuufu eri mu bigere byammwe okuba omujulirwa gyebali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mutuuka mu kifo ne batabaaniriza, oba ne bagaana okubawuliriza, nga muvaayo. Era bwe muba muvaayo, n'enfuufu eba ebakutte ku bigere mugyekunkumulangako, olw'okulabula abantu abo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli kifo kyonna ekitalibakkiriza, obutabawulira, bwe muvangayo, mukunkumulanga enfuufu eri mu bigere byammwe okuba omujulirwa gye bali.