Mark 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Erode kabaka n'awulira, kubanga erinnya lya Yezu lyali lyatiikiridde. Abamu baali bagamba nti “Yowanna eyabatizanga azuukiziddwa mu bafu; amaanyi g'okukola ebikolwa eby'amaanyi kyegava gakola mu ye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka Kerode n’awulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna olw’ebyamagero bye yakolanga. Naye Kerode n’alowooza nti Yokaana Omubatiza y’azuukidde, kubanga abantu baayogeranga nti, “Tewali muntu mulala ayinza kukola byamagero nga bino.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kerode kabaka n'awulira, kubanga erinnya lya Yesu lyali lyatiikiridde; n'agamba nti, “Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, amaanyi gano kyegava gakolera mu ye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Herode n'awulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna. Abamu nga bagamba nti: “Ye Yowanne Omubatiza azuukidde, kyava aba n'obuyinza okukola ebyamagero.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kerode kabaka n'awulira, kubanga erinnya lye lyatiikiridde; n'agamba nti Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, amaanyi gano kyegava gakolera mu ye.