Mark 6:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Erode yali atumye bakwate Yowanna, n'amussa mu kkomera olw'okubeera Erodiya muka Filippo muganda we gwe yali awasizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Kerode yennyini ye yatuma abaserikale be ne bakwata Yokaana Omubatiza ne bamuggalira mu kkomera, olwa Kerudiya muka muganda we Firipo, Kerode gwe yali awasizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Kerode yennyini yatuma, n'akwata Yokaana, n'amusiba mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa muganda we Firipo gwe yawasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Herode yennyini ye yali alagidde, Yowanne akwatibwe era aggalirwe mu kkomera, kino kisanyuse Herodiya, Herode gwe yali awasizza, ng'amusigudde ku muganda we Filipo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Kerode yennyini yatuma, n'akwata Yokaana, n'amusiba n'amussa mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa muganda we Firipo: kubanga yamuwasa.