Mark 6:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Yowanna yagambanga Erode nti: “Tokkirizibwa kwezza muka muganda wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okutwala Kerudiya muka muganda wo Firipo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “ Si kituufu ggwe okutwala mukazi wa muganda wo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowanne Omubatiza yagambanga Herode emirundi mingi nti: “Tokkirizibwa kusigula muka muganda wo n'omufuula mukazi wo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Yokaana yagamba Kerode nti Kya muzizo ggwe okubeera ne mukazi wa muganda wo.