Mark 6:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku lwa Sabbaato n'atandika okuyigiriza mu sinaagooga; bangi bwe baawulira, ne bawuniikirira olw'enjigiriza ye, ne bagamba nti: “Omuntu ono yaggya wa ebintu bino? Magezi ki agaamuweebwa? Bikolwa bya maanyi ki bino ebikolebwa n'emikono gye?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka n’agenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bw’ayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, “Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa n’eby’amagero ebyenkanidde wano by’akola?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku ssabbiiti n'agenda mu kkuŋŋaaniro n'atandika okuyigiriza. Abantu bangi bwe baamuwulira ne bawuniikirira, ne bagamba nti, “Omusajja ono bino byonna yabiyigira wa? Magezi ki ono ge yaweebwa n'eby'amagero eby'enkanidde wano by'akola?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku lwa Sabbaato bwe lwatuuka, n'atandika okuyigiriza mu kkuŋŋaaniro. Abantu bangi abaaliwo. Bwe baawulira by'ayigiriza, ne bawuniikirira! Ne bagamba nti: “Bino byonna yabiggya wa? Magezi ga ngeri ki gano ge yaweebwa? Era asobola atya okukola ebyamagero bino?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ssabbiiti bwe yatuuka, n'atanula okuyigiriza mu kkuŋŋaaniro: abangi bwe baamuwulira ne bawuniikirira, nga bagamba nti Ono ebyo yabiggya wa? era nti Magezi ki gano ge yaweebwa ono, era eby'amagero ebyenkanidde wano ebikolebwa mu mikono gye?