Mark 6:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Erode yali atya Yowanna, ng'amumanyi bw'ali omuntu omutuufu era omutuukirivu; n'amukuumanga. Bwe yamuwuliranga, ng'asoberwa nnyo, kyokka ng'asanyuka okumuwulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Kerode yatyanga Yokaana Omubatiza, ng’amuwa ekitiibwa ng’omuntu wa Katonda ow’amazima era omutukuvu, era ng’amukuuma. Era Kerode bwe yayogeranga ne Yokaana ng’emmeeme ye tetereera, so nga yali ayagala nnyo okuwuliriza by’amugamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Kerode yatya Yokaana, ng'amumanyi nga omuntu omutuukirivu era omutukuvu, n'amwekuuma. Kerode yayagalanga nnyo okuwulira Yokaana by'ayogera; naye ate byamulekanga nga tamanyi kya kukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Herode yali atya Yowanne, ng'amanyi nti Yowanne musajja mwesimbu, era mutuukirivu, kyeyava amukuuma aleme kubaako kabi. Yayagalanga okumuwuliriza, newaakubadde buli lwe yamuwulirizanga, yeeraliikiriranga nnyo mu mutima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Kerode yatya Yokaana, ng'amumanyi nga mutuukirivu mutukuvu, n'amwerinda. Yayagalanga nnyo okuwulira by'ayogera; naye ate byamulekanga nga tamanyi kya kukola.