Mark 6:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye olunaku olw'akakisa ne lutuuka: Erode ku mazaalibwa ge n'afumbira abakungu be embaga, n'abakulu b'eggye lye n'abaami mu Galilaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olwali olwo, Kabaka Kerode n’afumba embaga ku lunaku lw’amazaalibwa ge, n’ayita abakungu be n’abakulu b’abaserikale n’abaami bonna abatutumufu mu Ggaliraaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye olunaku lwali lumu Kerodiya n'afuna oluwenda okutuukiriza kye yali yayagala edda okukola. Olwali olwo Kerode n'afumbira abakungu be embaga ku lunaku olw'amazaalibwa ge, n'ayita abakungu be n'abakulu b'abaserikale n'abaami bonna abakulu mu Ggaliraaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olunaku lwatuuka, Herodiya n'afuna akakisa. Lwali lunaku lwa mazaalibwa ga Herode. Herode n'afumba embaga, n'ayita abakungu be, n'abakulu b'abaserikale, n'abantu abatutumufu mu Galilaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaku olulungi bwe lwatuuka, Kerode lwe yafumbira abakungu be embaga ku lunaku olw'okuzaalibwa kwe, n'abakulu ba sserikale, n'abaami ab'e Ggaliraaya: