Mark 6:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwala wa Erodiya n'ayingira n'azina, n'asanyusa Erode n'abaali batudde naye. Kabaka n'agamba omuwala nti: “Nsaba kyonna ky'oyagala, nzija kukikuwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo muwala wa Kerudiya yennyini n’ajja n’azina nnyo, n’asanyusa Kerode n’abagenyi be yali atudde nabo ku mbaga. Awo Kabaka Kerode n’agamba omuwala nti, “Nsaba kyonna ky’oyagala nange nnaakikuwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo muwala wa Kerodiya yennyini bwe yajja n'azina, Kerode n'abo abaali batudde naye nga balya ne bamusiima; awo kabaka n'agamba omuwala nti, “Nsaba ky'oyagala kyonna, nnaakikuwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwala wa Herodiya bwe yajja n'azina, n'asanyusa nnyo Herode n'abagenyi be. Awo kabaka n'agamba omuwala nti: “Nsaba kyonna ky'oyagala, nnaakikuwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo muwala wa Kerodiya yennyini bwe yajja n'azina, Kerode n'abo abaali batudde naye nga balya ne bamusiima; awo kabaka n'agamba omuwala nti Nsaba ky'oyagala kyonna, nnaakikuwa.