Mark 6:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwala n'afuluma, n'agamba nnyina nti: “Nsabe ki?” Nnyina n'amugamba nti: “Omutwe gwa Yowanna eyabatizanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuwala n’afuluma ne yeebuuza ku nnyina. Nnyina n’amugamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuwala n'afuluma, n'agamba nnyina nti, “ Nsabe ki?” N'agamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuwala n'afuluma, ne yeebuuza ku nnyina nti: “Kiki kye mba nsaba?” Nnyina n'addamu nti: “Omutwe gwa Yowanne Omubatiza gw'oba osaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'afuluma, n'agamba nnyina nti Nnaasaba ki? N'agamba nti Omutwe gwa Yokaana Omubatiza.