Mark 6:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago n'ayanguwako okudda eri kabaka, n'asaba ng'agamba nti: “Njagala ompe kati wano ku ssowaani omutwe gwa Yowanna Batista.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwala n’addayo mangu eri kabaka n’amusaba nti, “Njagala ompe kaakano, ku ssowaani, omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuwala amangwago n'addayo eri kabaka, n'amusaba ng'agamba nti, “Njagala ompe kaakano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lutiba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago omuwala n'ayanguwako okudda eri kabaka, n'amusaba nti: “Kye njagala, kwe kumpeerawo mu kaseera kano, omutwe gwa Yowanne Omubatiza, nga guteekeddwa ku ssowaani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago n'ayanguwako n'ajja eri kabaka, n'asaba, ng'agamba nti Njagala ompeere kaakano mu lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.