Mark 6:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'anakuwala nnyo; naye okubeera ebirayiro bye, n'okubeera abagenyi be, n'atayagala kumenyawo kye yamusuubiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, n’anyiikaala nnyo, kyokka olwokubanga yali amaze okulayira n’okweyama ng’abagenyi be bawulira, n’atya okumenya obweyamo bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'abo abaali batudde naye nga balya nga baawulira, n'atayagala kumenyawo kigambo kye yali agambye omuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, naye olw'okuba nga yali alayidde, ate nga n'abagenyi be bawulidde, n'atayagala kumumma ky'amusabye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'abo abaali batudde naye nga balya, n’atayagala kumumma.