Mark 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ono si ye mubazzi, mutabani wa Mariya, era muganda wa Yakobo ne Yoze ne Yuda ne Simoni? Bannyina bonna tebali kwaffe?” Ne bamwesittalako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne beebuuza nti, “Ono si ye mwana w’omubazzi? Maliyamu si ye nnyina, ne baganda be si be ba Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetubeera nabo kuno?” Ekyo ne kibatawanya mu mutima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Si y'ono omubazzi, omwana wa Malyamu, muganda wa Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? era ne bannyina tetubeera nabo kuno okwaffe?” Ne bamwesittalako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ono si ye mubazzi, mutabani wa Mariya, era muganda wa Yakobo ne Yose, ne Yuda, ne Simooni? Era bannyina tebabeera kuno naffe?” Awo ne bamukwatirwa obuggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Si ye wuuno omubazzi, omwana wa Malyamu, muganda wa Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetuli nabo wano ewaffe? Ne bamwesittalako.