Mark 6:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abatume ne badda awali Yezu, ne bamunyumiza byonna bye baakola ne bye baayigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamunnyonnyola byonna bye baakola ne bye baayigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamubuulira ebigambo byonna, bye baakola, ne bye baayigiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abatume ne bakomawo awali Yesu, ne bamunyumiza byonna bye baali bakoze ne bye baali bayigirizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abatume ne bakuŋŋaanira awali Yesu; ne bamubuulira ebigambo byonna, bye baakola, ne bye baayigiriza.