Mark 6:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: “Mujje ku mabbali, mu kifo ekyesudde, muwummuleko katono.” Kubanga bangi baali bajja nga bwe bagenda, nga tebalina na bbanga lya kulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Mujje tugende mu kifo eteri bantu tuwummuleko.” Kubanga baali babuliddwa n’akaseera ak’okuliiramu ku mmere olw’abantu abangi abajjanga gye bali; bano baabanga baakavaawo ate ng’abalala bajja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Mujje mmwe mwekka kyama mu kifo eteri bantu muwummuleko katono.” Kubanga waaliwo abantu bangi abali bajja gyebali nga n'abalala bagenda, ne babulwa n'akaseera ak'okuliiramu ku mmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'abagamba nti: “Mujje, tugende mu kifo mwe tunaasobolera okuba ffekka, muwummuleko.” Baali babuliddwa n'akaseera okulya emmere olw'abantu abangi abajjanga we bali. Bano baabanga bavaawo, ng'ate abalala batuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mujje mmwe mwekka kyama mu kifo eteri bantu muwummuleko katono. Kubanga waaliwo bangi abajja n'abagenda, so ne bataba na bbanga newakubadde aw'okuliira.