Mark 6:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne babalaba nga bagenda, bangi ne bamanya; ne bava mu byalo byonna, be baddukira ku bigere, ne babeesookayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abantu bangi abaava mu bibuga bingi ne babalaba nga bagenda ne bategeera gye baali bagenda ne badduka okwetooloola ku lukalu ne babeesookayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abantu bangi ne ba balaba nga bagenda, ne babategeera, n'abo abaava mu bibuga byonna ne badduka okwetooloola ku lukalu, ne babasookayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abantu bangi ne babalaba nga bagenda, ne babategeera nti be bo. Olwo ne bava mu bibuga byonna, ne bayita ku lukalu, nga bagenda badduka, ne babeesooka mu kifo Yesu n'abayigirizwa be gye baali balaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babalaba nga bagenda, bangi ne babategeera, n'abo abaava mu bibuga byonna ne baddukana ku lukalu, ne babasookayo.