Mark 6:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yagoba ku mwalo, n'alaba ekibiina kinene; ne bamukwasa ekisa, kubanga baali ng'endiga ezitaliiko musumba; n'atandika okubayigiriza ebintu bingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yava mu lyato n’alaba ekibiina ky’abantu bangi abaali bakuŋŋaanye n’abasaasira nga bali ng’endiga ezitalina musumba. Awo n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yava mu lyato n'alaba ebibiina bingi, n'abasaasira, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba, n'atandika okubayigiriza ebintu bingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yava mu lyato, n'alaba abantu bangi abakuŋŋaanye, n'abakwatirwa ekisa, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba! Awo n'amala ekiseera kiwanvu ng'abayigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yava mu lyato n'alaba ebibiina bingi, n'abasaasira, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba; n'atanula okubayigiriza ebigambo bingi.