Mark 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Omulanzi tabulwa kitiibwa wabula mu kyalo kyaboobwe, mu b'oluganda lwe ne mu nnyumba y'ewaabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa buli wantu okuggyako mu nsi y’ewaabwe ne mu bantu be ne mu maka ge waabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “Nnabbi tabulwa kitiibwa wabula mu nsi ye waabwe, ne mu kika kye, ne mu nnyumba ye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Omulanzi assibwamu ekitiibwa wonna wonna, okuggyako mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu kika kye, ne mu nnyumba y'ewaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abagamba nti Nnabbi tabulwa kitiibwa wabula mu nsi yaabo, ne mu kika kye, ne mu nnyumba ye.