Mark 6:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago n'awaliriza abayigirizwa be okusaabala mu lyato, bakulemberemu, balage emitala w'eri e Betisayida, ye nga bw'asiibula ekibiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bawunguke bagende emitala w’ennyanja e Besusayida abasange eyo, ng’amaze okusiibula ebibiina by’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago Yesu n'agamba abayigirizwa be basaabale mu lyato, bawunguke bagende emitala w'ennyanja e Besusayida, ye amale okusiibula ebibiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago Yesu n'alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bamukulemberemu, bagende e Betusayida, emitala w'ennyanja, nga ye akyasiibula abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago n'abawaliriza abayigirizwa be okusaabala mu lyato basookeyo emitala w'eri e Besusayida, ye amale okusiibula ebibiina.