Mark 6:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alaba nga bategana okuvuga, kubanga empewo yali ebafuluma mu maaso. Mu kisisimuka ekyokuna, n'ajja gye bali ng'atambula ku nnyanja; n'aba ng'ayagala okubayitako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abalengera nga bategana n’eryato kubanga waaliwo omuyaga mungi n’amayengo amagulumivu ebyabafuluma mu maaso gye baali balaga. Awo obudde bwali bunaatera okukya nga ku ssaawa mwenda ez’ekiro, n’ajja gye bali ng’atambulira ku mazzi, n’aba ng’ayagala okubayitako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yalaba nga bategana okuvuga, kubanga omuyaga gwali gubafulumye mu maaso, mu kisisimuka ekyokuna eky'ekiro n'ajja gye baali ng'atambulira ku nnyanja; yali ng'agenda kubayisa:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'abalengera nga bategana okuvuga eryato n'enkasi, olw'omuyaga ogwali gubafuluma gye balaga. Obudde bwali bunaatera okukya, n'ajja gye bali ng'atambula ku mazzi. N'aba ng'ayagala okubayitako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yalaba nga bategana okuvuga, kubanga omuyaga gwali gubafulumye mu maaso, mu kisisimuka eky'okuna eky'ekiro n'ajja gye baali ng'atambulira ku nnyanja; yali ng'agenda kubayisa: