Mark 6:55 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bayitaayita mangu mu nsi eyo yonna, ne batandika okusombera abalwadde ku nnyinyo wonna we baamuwuliranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne babuna mu bitundu ebyali biriraanyeewo nga bamuleetera abalwadde nga basituliddwa ku butanda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne badduka ne beetooloola mu nsi eyo yonna, ne batandika okusitulira ku bitanda abalwadde okubaleeta we baawulira nga wali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne badduka nga bayita buli wantu mu kitundu ekyo, ne baleeta abalwadde, nga babasitulidde ku butanda, ne babatwala wonna we baawuliranga nti Yesu w'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne baddukana ne beetooloola mu nsi eyo yonna, ne batanula okusitulira ku bitanda abalwadde okubaleeta we baawulira nga w'ali.