Mark 6:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ayita Ekkumi n'Ababiri, n'atandika okubatuma kinnababirye, n'abawa obuyinza ku myoyo emigwagwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abatuma babiri babiri era n’abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'ayita gy'ali ekkumi n'ababiri, n'atandika okubatuma kinnababirye; n'abawa obuyinza ku mwoyo emibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abatuma babiri babiri. Era n'abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayita gy'ali ekkumi n'ababiri, n'atanula okubatuma kinnababirye; n'abawa obuyinza ku dayimooni;