Mark 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abalagira obutatwala kantu mu kkubo, wabula omuggo gwokka; si nsawo, newandibadde omugaati, newandibadde ffeeza mu misipi gyabwe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abakuutira obutatwala kantu konna okuggyako omuggo ogw’okutambuza gwokka nti, “Temutwala mmere wadde akagugu newaakubadde ensimbi mu lukoba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abalagira obutatwala kintu kyonna gye bagenda okuggyako omuggo gwokka, si mmere, newakubadde ensawo, newakubadde ensimbi mu lukoba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abakuutira nti: “Mu lugendo luno temugenda na kantu na kamu, okuggyako omuggo. Temutwala mmere, wadde ensimbi, oba ensawo ng'ez'abasabiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abalagira obutatwala kintu kya mu kkubo wabula omuggo gwokka; si mmere, newakubadde ensawo, newakubadde ebikomo mu nkoba zaabwe,