Mark 7:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso mmwe mugamba nti: ‘Oli bw'agambanga kitaawe oba nnyina nti: Kye wandifunyeeko kati korubani’ - kwe kugamba nti ‘kitone’,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mmwe mugamba nti kituufu omuntu okulagajjalira bakadde be nga bali mu kwetaaga n’abagamba bugambi nti, ‘Mmunsonyiwe, kubanga kye nandibawadde ye Korubaani.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mmwe mwogera nti, ‘Omuntu bw'agamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa ye Kolubaani’ (ekitegeezebwa nti Kitone kya Katonda),
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye mmwe mugamba nti: ‘Singa omuntu ategeeza kitaawe oba nnyina nti kye yandimuwadde okumuyamba, kifuuse Korubaani,’ ekitegeeza nti kiwongeddwa eri Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mmwe mwogera nti Omuntu bw'agamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa ye Kolubaani, ekitegeezebwa nti Kitone kya Katonda;