Mark 7:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teri kiva bweru ne kiyingira mu muntu kiyinza kumwonoona; wabula ebifuluma mu muntu bye byonoona omuntu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu ebiyingira mu muntu si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe bye bizoonoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
tewali kintu ekiri ebweru w'omuntu bwe kiyingira mu ye, ekiyinza okumwonoona, naye ebintu ebiva mu muntu, ebyo bye byonoona omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo omuntu by'alya, si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe, bye bizoonoona. [
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tewali kintu ekiri ebweru w'omuntu bwe kiyingira mu ye, ekiyinza okumwonoona, naye ebintu ebiwa mu muntu, ebyo bye byonoona omuntu.