Mark 7:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Nammwe, bwe mutyo, temunnategeera? Temumanyi nga buli kintu ekiyingira munda nga kiva ebweru tekiyinza kumwonoona,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaddamu nti, “Nammwe temutegedde? Temutegeera nti buli kintu ekiyingira mu muntu si kye kimwonoona?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Bwe mutyo nammwe temutegedde? Temutegeera nti, kyonna ekiri ebweru bwe kiyingira mu muntu, tekiyinza kumwonoona;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Bwe mutyo nammwe temutegedde? Temulaba nti omuntu by'alya si bye byonoona empisa ze?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Bwe mutyo nammwe temulina magezi? Temutegeera nga kyonna ekiri ebweru bwe kiyingira mu muntu, tekiyinza kumwonoona;