Mark 7:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga tekiyingira mu mutima gwe, wabula kigenda mu lubuto, ate ne kifulumira mu kiyigo?” Awo n'akakasa nti emmere yonna nnungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okuba nga tekiyingira mu mutima gwe naye kiyingira mu lubuto lwe ne kiryoka kigenda mu kabuyonjo.” Mu kwogera atyo Yesu yakakasa nga buli kyakulya bwe kiri ekirongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga tekiyingira mu mutima gwe, naye mu lubuto lwe, ne kiyita ne kigenda mu kabuyonjo?” Yayogera bw'atyo ng'alongoosa ebiriibwa byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emmere teyingira mu mutima gwe, wabula egenda mu lubuto, mw'eva n'efuluma.” (Yesu, mu kwogera bw'atyo, yalaga nti tewali byakulya, abantu bye bateekwa okuziza).
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga tekiyingira mu mutima gwe; naye mu lubuto lwe, ne kiyita ne kigenda mu kiyigo? Yayogera bw'atyo ng'alongoosa ebiriibwa byonna.