Mark 7:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yava awo, n'alaga mu bitundu by'e Tiiro, n'ayingira mu nnyumba nga tayagala wabeerewo amumanya; naye n'atasobola kwekisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’alaga mu bitundu by’e Ttuulo, n’atayagala kitegeerekeke nti ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'avaayo n'agenda mu bitundu bye Ttuulo n'e Sidoni. N'ayingira mu nnyumba, n'atayagala muntu kutegeera, naye ne kitasoboka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yava awo, n'alaga mu kitundu ekiriraanye ebibuga Tiiro ne Sidoni, n'abeera mu maka agamu, n'atayagala bantu bamanye, kyokka n'atasobola kwekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agolokoka, n'avaayo n'agenda ku mbibi ez'e Ttuulo n'e Sidoni. N'ayingira mu nnyumba n'atayagala muntu kutegeera, so n'atayinza kwekisa.