Mark 7:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago omukazi ayalina omwana eyaliko omwoyo omugwagwa n'amuwulirako, n'ayingira, n'avunnama ku bigere bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi eyalina muwala we ng’aliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, n’ajja eri Yesu, n’agwa ku bigere bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye amangwago omukazi eyalina muwala we eyaliko dayimooni, bwe yamuwulira n'ajja n'afukamira ku bigere bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo omukazi eyalina kawala ke akaliko omwoyo omubi. Bwe yawulira ettutumu lya Yesu, amangwago n'agenda gy'ali, n'afukamira okumpi n'ebigere bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye amangu ago omukazi eyalina muwala we eyaliko dayimooni, bwe yamuwulira n'ajja n'afukamira ku bigere bye.