Mark 7:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Leka abaana bamale okukkuta; kubanga si kirungi kuddira mmere y'abaana n'ogikasukira embwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’agamba omukazi nti, “Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'agamba omukazi nti, “Leka abaana bamale okukkuta; kubanga si kirungi okuddira emmere y'abaana okugisuulira embwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amuddamu nti: “Leka abaana, be baba basooka okulya bakkute, kubanga bwe baba tebannakkuta, si kirungi okuddira emmere yaabwe, n'esuulirwa embwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Leka abaana bamale okukkuta kubanga si kirungi okuddira emmere y'abaana okugisuulira embwa.