Mark 7:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Abafarisaayo n'Abayudaaya bonna tebalya wabula nga bamaze kunaaba ngalo okutuukiriza empisa z'abakadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Abafalisaayo n’Abayudaaya bonna tebaalyanga nga tebasoose kunaaba mu ngalo n’obwegendereza ng’empisa zaabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Abafalisaayo, n'Abayudaaya bonna, tebaalyanga mmere nga tebamaze kunaaba nnyo ngalo zaabwe, nga obulombolombo obw'abakadde bwe bulagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafarisaayo n'Abayudaaya abalala bonna, baakuumanga empisa ya bajjajjaabwe ey'obutalya nga tebamaze kunaaba mu ngalo, ng'obulombolombo bwabwe bwe bulagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Abafalisaayo, n'Abayudaaya bonna bwe batanaaba nnyo mu ngalo zaabwe, tebalya, kubanga bakwata obulombolombo obw'abakadde