Mark 7:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yaddayo eka, yasanga muwala we agalamidde ku kitanda, n'omwoyo omubi nga gumuvuddemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addayo mu nnyumba ye, n'asanga omuwala ng'agalamizibbwa ku kitanda, ne dayimooni ng'amuvuddeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'addayo eka, n'asanga nga muwala we agalamidde ku buliri, era ng'omwoyo omubi gumuvuddeko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addayo mu nnyumba ye, n'asanga omuwala ng'agalamizibbwa ku kitanda, ne dayimooni ng'amuvuddeko.