Mark 7:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamuleetera omuggavu w'amatu ng'alina n'obuzibu mu kwogera. Ne bamwegayirira amusseeko omukono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu w’amatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuleetera omuggavu w'amatu, atayogera bulungi; ne bamwegayirira okumussaako omukono gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabaawo abaamuleetera kiggala, era eyali tasobola kwogera bulungi, ne bamwegayirira amukwateko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamuleetera omuggavu w'amatu, atayogera bulungi, ne bamwegayirira okumussaako omukono gwe.