Mark 7:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'amuggya mu kibiina, n'amuzza ku bbali, n'amussa engalo mu matu, n'awandula eddusu, n'amukwata ku lulimi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’aggya omusajja mu bantu n’amulaza wabbali, n’assa engalo ze mu matu g’omusajja; n’awanda amalusu, n’agasiiga n’olunwe lwe ku lulimi lw’omusajja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuggya mu kibiina kyama, n'amussa engalo mu matu ge, n'awanda amalusu, n'amukoma ku lulimi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'aggya omuntu ono mu kibiina ky'abantu, n'amuzza ku bbali, n'amussa engalo mu matu, n'awanda amalusu, n'amukwata ku lulimi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amuggya mu kibiina kyama, n'amussa engalo mu matu ge, n'awanda amalusu n'amukoma ku lulimi;