Mark 7:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bawuniikirira ebitayogerekeka, ne bagamba nti: “Byonna abikoze bulungi; abaggavu b'amatu abawuliza, ne bakasiru aboogeza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, “Buli ky’akola kya kyewuunyo, aggula n’amatu ga bakiggala n’ayogeza ne bakasiru!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bawuniikirira nnyo nnyini kitalo nga bagamba nti, “ Ebintu byonna abikoze bulungi, olaba aggula abaggavu b'amatu, era n'ayogeza ne bakasiru!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abaakiwulira, ne bawuniikirira nnyo, nga bagamba nti: “Byonna abikola bulungi: ababadde abaggavu b'amatu, abasobozesa okuwulira; ate ababadde bakasiru, n'abasobozesa okwogera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawuniikirira nnyo nnyini kitalo nga bagamba nti Byonna akoze bulungi: aggula abaggavu b'amatu, era ayogeza abasiru.