Mark 7:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era bwe bava mu katale, tebalya wabula nga bamaze kunaaba. Waaliwo n'ebirala bingi bye balagirwa okukwata: ng'okunaaza ebikopo n'ensumbi n'ebibya eby'ekikomo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe baddanga eka nga bava mu katale, ekyo kye baasookanga okukola nga tebannaba kukwata ku kyakulya kyonna. Waliwo n’obulombolombo obulala bwe baagobereranga ng’okulongoosa ensuwa zaabwe, n’ebikopo, n’ebbinika n’essowaani, n’ebirala bingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe bavanga mu katale, nga tabasobola kulya nga tebannaba kwetukuza; era waliwo n'ebirala bingi bye baaweebwa okukwata, okunaazanga ebikompe, n'ebibya, n'entamu ez'ebikomo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bye baggyanga mu katale nga tebabirya, okuggyako nga bimaze okutukuzibwa. Baalina n'obulombolombo obulala bungi bwe baakuumanga, ng'okwoza ebikopo, ebibya, n'entamu ez'ekikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bwe bava mu katale, bwe batanaaba, tebalya: era waliwo n'ebirala bingi bye baaweebwa okukwata, okunaazanga ebikompe; n'ebibya, n'entamu ez'ebikomo.